LIMSpec Wiki
Contents
Kampala kye kibuga kya Uganda ekikulu. Ekibuga kirimu abantu 1,208,544 era kye kisinga obunene mu Yuganda. Kampala erimu ggombolola ttaano: Central, Kawempe, Makindye, Nakawa ne Rubaga. Kampala ky'ekibuga ekikulu ekya ensi Yuganda. Kyatandikira ku busozi musanvu naye nga olwaleero kigaziye nekituuka ku busozi obuwerako. Kifugibwa omukulembeze alondebwa obuteerevu nga ekifo kye kiyitibwa "lord Mayor". Meeya aliko ye Ssalongo Lukwago Elias.
Ekibuga kirimu ebifo ebiweerako. Ebifo eby'obulambuzi ebisinga bya buwangwa ate nga ebindi bya byafaayo ssaako amasinzizo agenjawulo. Ebimu ku bifo eby'etuttumu mulimu olubiri Lwa Kabaka e Mengo, Bulange e Mengo, Amasiro g'e Kasubi aga ba ssekabaka ba Buganda, Akayanja ka Kabaka awamu n'ebirala. Amasinzizo agamanyiddwa mulimu Lutikko ye Lubaga (St. Mary's Cathedral, Lutikko y'e Namirembe, Bahai Temple e Kisaasi, Omuzikiti Gwa Gaddafi oguli e Kampala Mukadde awamu nebirala.
Ebifo by'ebyefaayo mu kibuga Kampala mulimu Ekkadiyizo Ly'ebyafaayo (Uganda Museum) e Kamwokya, Ekijjukizo kya amefuga (Independence Monument), Enkambi ya Kapere Lugard e Kampala Mukadde, n'birala.
Kampala | |
---|---|
Lua error in Module:Location_map at line 522: Unable to find the specified location map definition: "Module:Location map/data/Uganda" does not exist.Map of Uganda showing the location of Kampala. | |
Coordinates: 00°18′49″N 32°34′52″E / 0.31361°N 32.58111°E | |
Ngulu | Yuganda |
Disitulikiti | Kampala |
Abakulembeze | |
• Lord Mayor | Erias Lukwago |
Obugazi | |
• Total | 189 km2 (73 sq mi) |
• Land | 176 km2 (68 sq mi) |
• Water | 13 km2 (5 sq mi) |
Elevation | 1,190 m (3,900 ft) |
Abantu (2011 Estimate) | |
• Total | 1,659,600 |
• Ekibangirizi n'abantu | 9,429.6/km2 (24,423/sq mi) |
Saawa | EAT (UTC+3) |
Website | Homepage |
References
- ↑ Vision, Reporter (19 April 2011). "Kampala Executive Director Takes Office". New Vision. Retrieved 11 June 2014.